Olugero lwa Yesu olwa ddala
Laba Olugero lwa Yesu Olwaddala
Kyalira Ekibanja
Abantu baasaba
Bwoba wasabye essaala ey’okulokoka, kakati ofuuse mwana wa Katonda.
“Bwoyatula nakamwako nti Yesu ye Mukama era n’okkiriza n’omutima gwo nti Katonda yamuzuukiza okuva mu bafu, ogenda kulokolebwa.” – Abaluumi 10:9
Oyinza okusaba naffe kakano okulokoka.
Ayi Katonda,
Njatula nti Yesu ye Mukama. Nzikiriza nti yazaalibwa omuwala atamanyi musajja, yaffa ku musalaba obw’ebibi byange, era n’azuukira mu bafu oluvanyuma lwenaku ssatu. Leero, njatula nti nyononye mu maaso Go, era sirina kyenyinza kukola okwelokola. Nsaba onsonyiwe, era nteeka obwesige bwange mu Yesu yekka, nzikiriza nga kakati ndi mwana Wo era njakumala obulamu bwange Naawe. Ondagirire nga buli lunaku n’Omwoyo Omutukuvu. Onyambe okukwagala n’omutima gwange gwona, n’obulamu bwange bwona, n’emeeme yange yonna era n’okwagala abalala ng abwe neyagala nzeka. Webale onkundokola okuyita mu musaayi gw’Omwana Wo Yesu. Mu linnya lya Yesu mwensabidde. Amiina.